Zabbuli 32:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi. Masukiri Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo.

2 Alina omukisa omuntu oyo Mukama gwʼatakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

3Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna.

4 Wambonerezanga emisana nʼekiro, amaanyi ne ganzigwamu ngʼamazzi bwe gakalira mu kyeya.

5 Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bwʼotyo nʼonsonyiwa, nʼonziggyako omusango gwʼebibi byange.

6 Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa bakwegayirire ngʼokyalabika; oluvannyuma ebizibu bwe birijja, ngʼamazzi agʼamaanyi amangi tebiribatuukako.

7 Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetooloozanga ennyimba ezʼobulokozi.

8Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mwʼonootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

9 Temubeeranga ngʼembalaasi oba ennyumbu ezitategeera, ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba, ziryoke zifugibwe zijje gyʼoli.

10 Ababi balaba ennaku nnyingi; naye abeesiga Mukama bakuumirwa mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu, era muyimbire waggulu nʼessanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>