Zabbuli 33:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Muyimbire Mukama nʼessanyu mmwe abatuukirivu; kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.

2Mutendereze Mukama nʼennanga, mumukubire ennyimba ku ntongooli eyʼenkoba ekkumi.

3Mumuyimbire oluyimba oluggya; musune enkoba ze ntongooli nʼamagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi eryʼomwanguka olwʼessanyu.

4Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima; mwesigwa mu buli kyʼakola.

5Mukama ayagala obutuukirivu nʼobwenkanya. Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

6 Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; nʼassiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna eryʼomu ggulu ne litondebwa.

7 Yakuŋŋaanya amazzi gʼennyanja mu ntuumu, agayanja nʼagasibira mu masitoowa gaago.

8Ensi yonna esaana etyenga Mukama, nʼabantu abʼomu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;

9 kubanga yayogera bwogezi nʼetondebwa, nʼalagira nʼeyimirira nga nywevu.

10 Mukama asansulula enteekateeka yʼamawanga; alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.

11 Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; nʼebigendererwa byʼomutima gwe bya lubeerera.

12 Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo, ngʼabantu baalyo yabalonda babeere bantu be.

13 Mukama asinziira mu ggulu nʼalaba abaana bʼabantu bonna;

14asinziira mu kifo kye mwʼabeera nʼalaba abantu bonna abali ku nsi.

15 Ye yʼategeka ebirowoozo byabwe bonna ne yeetegereza byonna bye bakola.

16Tewali kabaka asobola kuwona olwʼobunene bwʼeggye lye; era tewali mulwanyi ayinza kuwona olwʼamaanyi ge amangi.

17 Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere; newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.

18 Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya; abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,

19abawonya okufa, era abawonya enjala.

20Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.

21Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.

22Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe, Ayi Mukama, ngʼessuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>