Zabbuli 34:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Okutendereza Mukama nʼokumwesiga Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.

2Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama; ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.

3Kale tutendereze Mukama, ffenna tugulumizenga erinnya lye.

4 Nanoonya Mukama, nʼannyanukula; nʼammalamu okutya kwonna.

5Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaaswalenga.

6Omunaku ono yakoowoola Mukama nʼamwanukula, nʼamumalako ebyali bimuteganya byonna.

7 Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, nʼabawonya.

8 Mulegeeko mulabe nga Mukama bwʼali omulungi! Balina omukisa abaddukira gyʼali.

9Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga.

10Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.

11Mujje wano baana bange, mumpulirize; mbayigirize okutya Mukama.

12 Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi, okuba mu ssanyu emyaka emingi?

13 Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, nʼakamwa ko kaleme okwogera ebyʼobulimba.

14 Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi; noonya emirembe era ogigobererenga.

15 Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, nʼamatu ge gawulira okukaaba kwabwe.

16 Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala nʼobutaddayo kujjukirwa ku nsi.

17Abatuukirivu bakoowoola Mukama nʼabawulira nʼabawonya mu byonna ebiba bibateganya.

18 Mukama abeera kumpi nʼabalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

19 Omuntu omutuukirivu ayinza nʼokuba nʼebizibu bingi, naye byonna Mukama abimuyisaamu.

20 Amagumba ge gonna Mukama agakuuma, ne watabaawo na limu limenyeka.

21Ekibi kiritta abakola ebibi, nʼabalabe bʼabatuukirivu balibonerezebwa.

22 Mukama anunula abaweereza be; so tewali nʼomu ku abo abaddukira gyʼali alibonerezebwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>