Zabbuli 35:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya, lwanyisa abo abannwanyisa.

2Golokoka okwate engabo, nʼakagabo onziruukirire.

3Galula effumu, abangigganya obazibire ekkubo; otegeeze omwoyo gwange nti, “Nze bulokozi bwo.”

4Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe era baswazibwe; abo abateesa okunsanyaawo bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.

5 Babe ngʼebisusunku ebifuumuulibwa empewo, malayika wa Mukama ngʼabagoba.

6Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ngʼabagoba.

7Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze, ne bansimira nʼekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,

8 Bazikirizibwe nga tebategedde, nʼomutego gwe banteze be baba bagugwamu, era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.

9Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama, ne gusanyukira mu bulokozi bwe.

10Amagumba gange galyogera nti, “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama? Kubanga abaavu obadduukirira nʼobawonya ababasinza amaanyi, nʼabali mu kwetaaga nʼobawonya abanyazi.”

11 Abajulizi abakambwe bagolokoka ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.

12 Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi, ne banakuwaza omwoyo gwange.

13 So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu, ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe, naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,

14ne mbeera mu nnaku ngʼankungubagira owʼomukwano oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike ngʼakaabira nnyina.

15Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse; ne bannumba nga simanyi, ne bampayiriza obutata.

16Banduulidde nʼettima ngʼabatamanyi Katonda bwe bakola, ne bannumira obujiji.

17 Ayi Mukama, olituusa ddi ngʼotunula butunuzi? Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa, obulamu bwange obwʼomuwendo eri empologoma zino.

18Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu, ne nkutenderezanga mu kibiina kyʼabantu abangi ennyo.

19 Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako, abankyawa awatali nsonga; abankyayira obwereere tobakkiriza kunziimuula.

20Teboogera bya mirembe, wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.

21Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti, “Leero luno, kyʼokoze tukirabye nʼamaaso gaffe.”

22Bino byonna obirabye, Ayi Mukama. Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.

23Golokoka ojje onnyambe; nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.

24Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange, tobaganya kunneeyagalirako.

25Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!” Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

26Abo bonna abanneeyagalirako olwʼennaku yange ne beesanyusa, batabulwetabulwe era baswazibwe; abo bonna abanneegulumirizaako baswazibwe era banyoomebwe.

27Abo abasanyuka ngʼannejjeereza, baleekaanire waggulu olwʼessanyu nʼokujaganya; era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe, asanyuka omuweereza we ngʼatebenkedde.”

28Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>