1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi ⓟ Nnina obubaka mu mutima gwange obukwata ku bwonoonyi bwʼomukozi wʼebibi. Taliimu kutya Katonda;
2Ye nga bwʼalaba yeewaanawaana nʼatasobola kutegeera oba okukyawa ekibi kye.
3ⓠ Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba; takyalina magezi era takyakola birungi.
4ⓡ Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi byʼanaakola; amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu, era ebitali bituufu tabyewala.
5Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu; obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6ⓢ Obutuukirivu bwo bugulumivu ngʼagasozi aganene, nʼobwenkanya bwo buwanvu nnyo ngʼennyanja ennene ennyo. Ayi Mukama, olabirira abantu nʼebisolo.
7Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Abʼebitiibwa nʼabatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
8ⓣ Balya ku bingi ebyʼomu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa byʼomugga gwo ogwesiimisa.
9ⓤ Kubanga gwʼolina ensulo eyʼobulamu, era gwʼotwakiza omusana.
10Yongeranga okwagala abo abakutegeera, era nʼobutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11Abʼamalala baleme okunninnyirira, wadde ababi okunsindiikiriza.
12Laba, ababi nga bwe bagudde! Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.