Zabbuli 37:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Teweeraliikiriranga olwʼabantu ababi, so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.

2Kubanga bagenda kuwotoka ngʼomuddo, bafiire ddala ngʼessubi ekkalu.

3Weesigenga Mukama okolenga bulungi, onoobeeranga nʼemirembe mu nsi nʼofuna ebirungi.

4 Sanyukiranga mu Mukama, anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

5Byʼokola byonna byesigamyenga ku Mukama; mwesigenga, anaakukoleranga kyʼoyagala.

6 Anaayolekanga obutuukirivu bwo ngʼomusana, nʼobwenkanya bwʼebikolwa byo ne bwakaayakana ngʼenjuba eyʼomu ttuntu.

7 Siriikirira awali Mukama, ogumiikirize ngʼolindirira kyʼanaakola. Tofangayo ngʼabalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

8 Tonyiiganga era weewale ekiruyi; teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.

9Kubanga ababi balisalibwako, naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala; wadde mulibanoonya temulibalabako.

11 Naye abateefu baligabana ensi ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12Ababi basalira abatuukirivu enkwe, ne babalumira obujiji.

13 Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi ngʼentuuko zaabwe ziri kumpi.

14Ababi basowoddeyo ebitala byabwe ne baleega emitego gyʼobusaale, batte abaavu nʼabali mu kwetaaga era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.

15Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gye nnyini, nʼemitego gyabwe egyʼobusaale girimenyebwa.

16 Ebitono omutuukirivu byʼalina bisinga obugagga bwʼababi abangi;

17Kubanga amaanyi gʼabakola ebibi galikoma, naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18Ennaku zʼabataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama, era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.

19Mu biseera ebyʼakabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga, ne mu biro ebyʼenjala banakkusibwanga.

20Naye ababi balizikirira; abalabe ba Mukama balifaanana ngʼobulungi bwe ttale, era baliggwaawo, baliggwaawo ngʼomukka.

21Ababi beewola, ne batasasula; naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.

22 Abo Mukama bʼawa omukisa baligabana ensi, naye abo bʼakolimira balizikirizibwa.

23 Mukama bwʼasanyukira ekkubo lyʼomuntu, aluŋŋamya entambula ye.

24 Ne bwʼaneesittalanga, taagwenga wansi, kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.

26 Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe nʼessanyu. Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27Muve mu bibi, mukolenga ebirungi, munaabanga balamu emirembe gyonna.

28Kubanga Mukama ayagala abʼamazima, nʼabeesigwa be taabaabulirenga. Banaalabirirwanga emirembe gyonna; naye ezzadde lyʼababi lirizikirizibwa.

29 Abatuukirivu baligabana ensi ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30 Akamwa kʼomutuukirivu koogera bya magezi, nʼolulimi lwe lwogera bya mazima.

31Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe, era ebigere bye tebiseerera.

32Omubi ateega omutuukirivu ngʼanoonya okumutta,

33 naye Mukama taliganya babi kuwangula, wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34Lindirira Mukama nʼokugumiikiriza, otambulirenga mu makubo ge; naye alikugulumiza nʼakuwa ensi; ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli kyʼakola kimugendera bulungi, ngʼagimuse ngʼomuti ogukulidde mu ttaka eggimu,

36naye teyalwawo nʼabula, ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu; obulamu bwe bunajjulanga emirembe.

38Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa; ezzadde lyʼababi lirisaanyizibwawo.

39Obulokozi bwʼabatuukirivu buva eri Mukama; ye kyʼekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera ekyʼemitawaana.

40 Mukama abayamba nʼabalokola; abaggya mu mikono gyʼababi nʼabalokola, kubanga gyʼali gye baddukira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>