1Zabbuli ya Dawudi, eyʼokujjukiza. Ayi Mukama tonnenya ngʼokyaliko obusungu, oba okunkangavvula ngʼoliko ekiruyi.
2Kubanga obusaale bwo bunfumise, nʼomuggo gwo gunkubye nnyo.
3Obusungu bwo bundwazizza nzenna, nʼamagumba gange gonna gansagala olwʼebyonoono byange.
4Omusango gwe nzizizza guyitiridde, gunzitoowerera ngʼomugugu omunene oguteetikkika.
5Ebiwundu byange bitanye era biwunya, olwʼokwonoona kwange okwʼobusirusiru.
6Nkootakoota era mpweddemu ensa, ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
7Omugongo gunnuma nnyo, ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
8Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese; nsinda buli bbanga olwʼobulumi mu mutima.
9Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, nʼokusinda kwange okuwulira.
10Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu; nʼokulaba sikyalaba.
11Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olwʼamabwa gange; ne bannange tebakyansemberera.
12Abaagala okunzita bantega emitego, nʼabo abangigganya bateesa okummalawo. Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
13ⓛ Ndi ngʼomuggavu wʼamatu, atawulira; nga kiggala, atayogera.
14Nfuuse ngʼomuntu atalina kyʼawulira, atasobola kwanukula.
15Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama, onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16Tobakkiriza kunneeyagalirako, oba okunneegulumirizaako ngʼekigere kyange kiseeredde.
17Kubanga nsemberedde okugwa, era nga nnumwa buli kiseera.
18Ddala ddala njatula ebyonoono byange; nnumirizibwa ekibi kyange.
19Abalabe bange bangi era ba maanyi; nʼabo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20Abalabe bange bankyawa olwʼokuba omulongoofu, era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.
21Ayi Mukama, tonjabulira; tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22Ayi Mukama Omulokozi wange, yanguwa okumbeera.