1Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi. ⓜ Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola, nʼolulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu. Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2Naye bwe nasirika ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi, ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange. Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange; kyenava njogera nti,
4“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba, nʼennaku ze nsigazza; ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5Ennaku zʼobulamu bwange wazitegeka ziri ngʼoluta. Obungi bwʼemyaka gyange tobulabamu kantu. Buli muntu, mukka bukka.
6Ddala ddala omuntu ku nsi ali ngʼekisiikirize. Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu. Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8Ondokole mu bibi byange byonna, abasirusiru baleme okunsekerera.
9ⓝ Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange; kubanga kino ggwe wakikola.
10ⓞ Olekere awo okunkuba, emiggo gyʼonkubye giyitiridde!
11ⓟ Onenya omuntu ngʼomukangavvula olwʼekibi kye kyʼakola, omumaliramu ddala ensa, ngʼennyenje bwʼekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka.
12ⓠ Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
13ⓡ Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno, ne mbulirawo ddala.