Zabbuli 4:1-8 LGCB2014 - Bible AI

1Ya mukulu wa Bayimbi: nʼebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi Bwe nkukoowoola onnyanukule, Ayi Katonda wange omutuukirivu. Bwe mba mu nnaku, onnyambe. Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

2Mmwe abaana bʼabantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, nʼokunoonya ebyʼobulimba?

3 Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

4 Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire, mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.

5 Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde; era mwesigenga Mukama.

6 Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama, otumulisize omusana gwʼamaaso go.”

7 Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

8 Nnaagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.