1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Nalindirira Mukama nʼobugumiikiriza, nʼantegera okutu, nʼawulira okukoowoola kwange,
2Nʼanziggya mu kinnya ekyʼentiisa, nʼannyinyulula mu bitosi, nʼanteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde.
3Anjigirizza oluyimba oluggya, oluyimba olwʼokutenderezanga Katonda waffe. Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama nʼokumwesiganga.
4Balina omukisa abo abeesiga Mukama, abatagoberera ba malala abasinza bakatonda abʼobulimba.
5ⓢ Ayi Mukama Katonda wange, otukoledde ebyʼewunyisa bingi. Ebintu byʼotuteekeddeteekedde tewali ayinza kubikutegeeza. Singa ngezaako okubittottola, sisobola kubimalayo byonna olwʼobungi bwabyo.
6ⓣ Ssaddaaka nʼebiweebwayo tewabyagala. Ebiweebwayo ebyokebwa olwʼokutangirira ebibi, tobyetaaga. Naye onzigudde amatu.
7Kyenava njogera nti, “Nzuuno, nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gwʼekitabo.”
8ⓤ Nsanyukira okukola kyʼoyagala, Ayi Katonda wange, kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
9Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene. Sisirika busirisi, nga naawe bwʼomanyi, Ayi Mukama.
10ⓥ Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange, naye ntegeeza ku bwesigwa bwo nʼobulokozi bwo. Abantu nga bakuŋŋaanye, sirema kubategeeza ku mazima go nʼokwagala kwo okungi.
11Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama, amazima nʼokwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde; ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba; bisinga enviiri ezʼokumutwe gwange obungi, mpweddemu amaanyi.
13Onsasire ayi Mukama ondokole; Ayi Mukama, yanguwa okumbeera,
14Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale; nʼabo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16Naye abo abakunoonya basanyuke era bajaguze; abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Mukama agulumizibwenga.”
17ⓦ Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.