1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olwʼakabi.
2ⓧ Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; nʼatamuwaayo eri okwegomba kwʼabalabe be.
3Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; nʼamuwonya mu bulumi.
4Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5Abalabe bange boogeza obukyayi nti, “Alifa ddi nʼokwerabirwa ne yeerabirwa?”
6Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange; naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa. Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
7Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama; nga banjogerako ebitali birungi;
8Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo, emukubye wansi tayinza kuwona.”
9ⓨ Era ne mukwano gwange gwe neesiganga bwe twalyanga, anneefuukidde.
10Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11Mmanyi ngʼonsanyukira, kubanga omulabe wange tampangudde.
12Onnywezezza mu bwesimbu bwange, ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
13Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda nʼedda lyonna nʼokutuusa emirembe gyonna.