Zabbuli 42:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi: Masukiri ya Batabani ba Koola Ngʼempeewo bwʼewejjawejja olwʼamazzi, nʼemmeeme yange bwʼetyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.

2 Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu. Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?

3Nkaabirira Mukama emisana nʼekiro. Amaziga gange gabadde emmere yange emisana nʼekiro, abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”

4 Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga nʼekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri zʼabantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi eryʼomwanguka nʼokwebaza mu kibiina ekijaguza.

5 Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange.

6Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olwʼebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[8] ne ku Lusozi Mizali.

7Obuziba bukoowoola obuziba, olwʼokuwuluguma kwʼebiyiriro amayengo nʼamasingisira go bimpiseeko.

8 Mukama alaga okwagala kwe emisana nʼekiro ne muyimbira oluyimba lwe; yʼessaala eri Katonda wʼobulamu bwange.

9Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti, “Lwaki onneerabidde? Lwaki ŋŋenda nkungubaga olwʼokujoogebwa abalabe bange?”

10 Mbonyaabonyezebwa ngʼabalabe bange bancocca, nga bwe bagamba buli kiseera nti, “Katonda wo ali ludda wa?”

11Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Weesigenga Katonda, kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era ye Katonda wange.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>