Zabbuli 43:1-5 LGCB2014 - Bible AI

1Ayi Katonda, onnejjeereze omponye eggwanga eritatya Katonda ondokole mu mikono gyʼabantu abalimba, abakola ebibi.

2Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange ekyʼamaanyi. Lwaki ondese? Lwaki ŋŋenda nkaaba nga nnyigirizibwa omulabe?

3Kale tuma omusana gwo nʼamazima binnuŋŋamye; bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, mu kifo mwʼobeera.

4Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda, eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika. Weewaawo nnaakutenderezanga nʼennanga, Ayi Katonda, Katonda wange.

5Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse munda yange? Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era Katonda wange.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>