Zabbuli 44:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi; Zabbuli ya Batabani ba Koola. Masukiri. Ayi Katonda, twawulira nʼamatu gaffe, bajjajjaffe baatubuulira, ebyo bye wakola mu biro byabwe, mu nnaku ezʼedda ezaayita.

2 Nga bwe wagoba amawanga mu nsi nʼogiwa bajjajjaffe, wasaanyaawo amawanga nʼokulaakulanya bajjajjaffe.

3Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi, nʼomukono gwabwe si gwe gwabalokola; wabula baawangula nʼomukono gwo ogwa ddyo awamu nʼobulungi bwo, kubanga wabaagala.

4Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange; awa Yakobo obuwanguzi.

5 Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe; ku lwʼerinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.

6Ddala ddala omutego gwange ogwʼobusaale si gwe neesiga, nʼekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.

7Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe, nʼoswaza abo abatuyigganya.

8Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna. Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

9Naye kaakano otusudde ne tuswala; era tokyatabaala na magye gaffe.

10 Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ngʼabalabe baffe balaba, abatuyigganya ne batunyaga.

11 Watuwaayo okuliibwa ngʼendiga; nʼotusaasaanya mu mawanga.

12 Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo, nʼotobaako kyʼoganyulwa.

13 Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe, ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.

14 Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna; era abantu banyeenya emitwe gyabwe.

15Nswazibwa obudde okuziba, amaaso gange ne gajjula ensonyi,

16olwʼabo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu, olwʼomulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17Ebyo byonna bitutuseeko, newaakubadde nga tetukwerabidde, wadde obutagondera ndagaano yo.

18 Omutima gwaffe tegukuvuddeeko, so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.

19Naye ggwe otubonerezza nʼotulekera emisege, nʼotuleka mu kizikiza ekikutte.

20 Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe, ne tusinza katonda omulala,

21 ekyo Katonda waffe teyandikizudde? Kubanga ye amanyi nʼebikisibwa mu mutima.

22 Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba, era tuli ngʼendiga ezʼokusalibwa.

23Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase? Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!

24 Lwaki otwekwese? Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe nʼokujoogebwa?

25 Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu; tuli ku ttaka.

26Golokoka otuyambe; tulokole olwʼokwagala kwo okutaggwaawo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>