Zabbuli 45:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba olwa “Malanga” olwa Batabani ba Koola. Masukiri Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka. Olulimi lwange kkalaamu yʼomuwandiisi omukugu.

2 Ggwʼosinga abaana bʼabantu obulungi; nʼakamwa ko nga kafukiddwako amafuta agʼekisa. Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

3Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe owʼamaanyi, yambala ekitiibwa kyo nʼobukulu bwo!

4Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo ekyʼobuwanguzi, ngʼolwanirira amazima, obuwombeefu, nʼobutuukirivu. Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.

5Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gyʼabalabe ba kabaka; afuge amawanga.

6 Entebe yo eyʼobwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; nʼomuggo ogwʼobwenkanya gwe guliba ogwʼobwakabaka bwo.

7 Oyagala obutuukirivu nʼokyawa okukola ebibi; noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza nʼakufukako amafuta agʼessanyu okusinga bakabaka banno bonna.

8 Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya. Ebivuga ebyʼenkoba bikusanyusiza mu mbiri zo ezʼamasanga.

9 Mu bakyala bo mulimu abambejja; namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ngʼayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

10Muwala, wuliriza bye nkugamba: “Weerabire abʼewammwe nʼabʼomu nnyumba ya kitaawo.

11 Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa nʼoyitirira; nga bwʼali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”

12 Muwala wʼe Ttuulo[9] alijja nʼekirabo, abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.

13Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye, ngʼayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.

14 Aleetebwa mu maaso ga kabaka ngʼayambadde ebyambalo ebyʼemidalizo emingi. Emperekeze ze zimuwerekerako; bonna ne bajja gyʼoli.

15Baleetebwa nga bajjudde essanyu nʼokweyagala, ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe, olibafuula ngʼabalangira mu nsi omwo.

17Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna. Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe nʼemirembe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>