1Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. ⓐ Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bwʼeneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bwʼennyanja;
3ⓑ amazzi gʼennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu ensozi ne zikankana olwʼokwetabula kwago.
4Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5ⓒ Tekirigwa kubanga Katonda mwʼabeera. Katonda anaakirwaniriranga ngʼobudde bunaatera okukya.
6Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa; ayimusa eddoboozi lye ensi nʼesaanuuka.
7ⓓ Mukama owʼEggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8Mujje, mulabe Mukama byʼakola, mulabe nga bwʼafaafaaganya ensi.
9ⓔ Yʼakomya entalo mu nsi yonna; akutula emitego gyʼobusaale, effumu alimenyaamenya; amagaali nʼengabo abyokya omuliro.
10ⓕ Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11Katonda owʼEggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.