Zabbuli 47:1-9 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ezʼessanyu;

2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna.

3Yatujeemululira abantu, nʼatujeemululira amawanga ne tugafuga.

4Yatulondera omugabo gwaffe, Yakobo gwʼayagala mwe yeenyumiririza.

5Katonda alinnye waggulu ngʼatenderezebwa mu maloboozi agʼessanyu eringi. Mukama alinnye nga nʼamakondeere gamuvugira.

6Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[10]

7 Kubanga Katonda ye Kabaka wʼensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli eyʼettendo.

8 Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ngʼatudde ku ntebe ye entukuvu.

9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye ngʼabantu ba Katonda wa Ibulayimu; Kubanga Katonda yʼafuga abakulembeze bʼensi. Katonda agulumizibwenga nnyo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>