Zabbuli 48:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

2Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu, olusanyusa ensi yonna. Ku ntikko Zafoni kwe kuli ekibuga kya Kabaka Omukulu;

3Katonda mwʼabeera; yeeraze okuba ekigo kye.

4Kale laba, bakabaka bʼensi baakuŋŋaana ne bakyolekera bakirumbe;

5bwe baakituukako ne bakyewuunya, ne batya nnyo ne badduka;

6 nga bakankana, ne bajjula obulumi ngʼomukazi alumwa okuzaala.

7 Wabazikiriza ngʼomuyaga ogwʼebuvanjuba bwe guzikiriza ebyombo byʼe Talusiisi.

8 Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama owʼEggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

9Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo nga tuli mu Yeekaalu yo.

10Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda, bwʼotyo bwʼotenderezebwa mu nsi yonna. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.

11Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12Mutambule mu Sayuuni, mukibune; mubale nʼebigo byakyo.

13Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo nʼolusiisira lwʼamaggye lwamu lwonna; mulyoke mutegeeze abʼemirembe egiriddawo.

14 Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; yʼanaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>