Zabbuli 49:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola Muwulire mmwe amawanga gonna, mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.

2Abʼekitiibwa nʼabakopi, abagagga nʼabaavu, mwenna; muwulirize ebigambo byange.

3Kubanga ebigambo byʼomu kamwa kange bya magezi, ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.

4Nnaakozesanga ebikwata ku ngero, nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo nʼoluyimba ku nnanga.

5Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu; newaakubadde ngʼabalabe bange banneetoolodde,

6 Abantu abeesiga obugagga bwabwe beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.

7 Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne, wadde okwegula okuva eri Katonda.

8Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo, tewali nʼomu agusobola;

9 Alyoke awangaale ennaku zonna nga tatuuse magombe.

10Kubanga nʼabantu abagezi bafa; abasirusiru nʼabatalina magezi bonna baaggwaawo, obugagga bwabwe ne babulekera abalala.

11 Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna; nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo; baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bwʼaba mugagga atya, alifa ngʼensolo bwe zifa.

13 Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu, era ye nkomerero yʼabo abeesiga obugagga bwabwe.

14 Okufaanana ngʼendiga, bateekwa kufa; olumbe ne lubalya. Bakka butereevu emagombe, obulungi bwabwe ne bubula, amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.

15 Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe, ddala ddala alintwala gyʼali.

16Omuntu bwʼagaggawalanga nʼekitiibwa kyʼennyumba ye nga kyeyongedde, tomutyanga,

17kubanga bwʼalifa taliiko kyʼalitwala, wadde nʼekitiibwa kye tekirigenda naye.

18 Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ngʼaweereddwa omukisa kubanga omugagga abantu bamugulumiza,

19 kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe, nʼayingira mu kizikiza ekikutte.

20 Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna, alizikirira ngʼensolo ezʼomu nsiko.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>