Zabbuli 5:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Ya mukulu wa Bayimbi: ya ndere. Zabbuli ya Dawudi Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange.

2Wuliriza eddoboozi lyʼomulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba.

3Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gyʼoli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.

4Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi: nʼebitasaana tobigumiikiriza.

5 Abʼamalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna.

6Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era nʼabalimba.

7Naye olwʼekisa kyo ekingi, nze nnaayingiranga mu nnyumba yo: ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu nʼokutya okungi.

8 Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olwʼabalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu eryʼokutambulirangamu.

9Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba.

10Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda; baleke bagwe mu mitego gyabwe. Bagobe kubanga baakujeemera.

11Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga nʼessanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, nʼomwetoolooza okwagala ngʼengabo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>