Zabbuli 50:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Asafu Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda, akoowoola ensi okuva enjuba gyʼeva okutuuka gyʼegwa.

2Katonda ayakaayakana ngʼava mu Sayuuni nʼobulungi bwʼekitiibwa kye ekituukiridde.

3 Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise, omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera, nʼomuyaga ogwʼamaanyi ne gumwetooloola.

4 Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi, azze okusalira abantu be omusango.

5 Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa, abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”

6 Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

7 Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera. Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana: Nze Katonda, Katonda wo.

8 Sikunenya lwa ssaddaaka zo, oba ebiweebwayo ebyokebwa byʼossa mu maaso gange bulijjo.

9Sikyakkiriza nte nnume nʼemu evudde mu kiralo kyo, wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.

10Kubanga buli nsolo eyʼomu kibira yange, awamu nʼente eziri ku nsozi olukumi.

11Ennyonyi zonna ezʼoku nsozi nzimanyi, nʼebiramu byonna ebyʼomu nsiko byange.

12Singa nnumwa enjala sandikubuulidde: kubanga ensi nʼebigirimu byonna byange.

13 Ndya ennyama yʼente ennume, wadde okunywa omusaayi gwʼembuzi?

14 Owangayo ssaddaaka eyʼokwebaza eri Katonda; era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.

15 Bwʼobanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.

16Naye omubi Katonda amugamba nti, Lekeraawo okwatulanga amateeka gange, nʼendagaano yange togyogerangako.

17 Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, nʼebigambo byange tobissaako mwoyo.

18 Bwʼolaba omubbi, ngʼomukwana; era weetaba nʼabenzi.

19Okolima era olimba; olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.

20Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera, era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.

21 Ebyo byonna obikoze, ne nsirika, nʼolowooza nti twenkanankana. Naye kaakano ka nkunenye, ebisobyo byonna mbikulage.

22 “Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo, nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.

23Oyo awaayo ssaddaaka eyʼokwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>