1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ngʼamaze okutwala Basuseba nʼokutemula bba, Uliya. ⓛ Onsaasire, Ayi Mukama, ggwe alina okwagala okutaggwaawo. Olwʼokusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2ⓜ Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3Ebyonoono byange mbikkiriza, era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4ⓝ Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye, ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ngʼolaba; noolwekyo byʼoyogera bituufu, era nʼensala yo eyʼomusango ya bwenkanya.
5Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange. Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7Onnaaze nʼezobu[11] ntukule onnaaze ntukule nʼokusinga omuzira.
8Onzirize essanyu nʼokwesiima, amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9Totunuulira bibi byange, era osangule ebyonoono byange byonna.
10Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11Tongoba wʼoli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12Onkomezeewo essanyu eryʼobulokozi bwo, era ompe omutima ogugondera byʼoyagala,
13ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go, nʼabakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gyʼoli.
14Ondokole mu kibi ekyʼokuyiwa omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda owʼobulokozi bwange; olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange, nʼakamwa kange kanaakutenderezanga.
16Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde; nʼebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17Ssaddaaka Katonda gyʼayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
18Okulaakulanye Sayuuni nga bwʼosiima. Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19Olyoke osanyukire ssaddaaka eyʼobutuukirivu, ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa; nʼente ziweebweyo ku kyoto kyo.