1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda nʼabuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.” Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja owʼamaanyi? Endagaano ya Katonda eyʼobwesigwa ebeerera emirembe nʼemirembe.
2Oteekateeka enkwe ezʼokuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga girita era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi, nʼokulimba okusinga okwogera amazima.
4Osanyukira nnyo okwogera ebirumya. Ggwe olulimi kalimbira!
5Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi yʼabalamu.
6Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde. Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7“Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera nʼamaanyi ngʼazikiriza abalala.”
8Naye nze nfaanana ngʼomuti omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo emirembe nʼemirembe.
9Nnaakwebazanga emirembe gyonna olwʼekyo kyʼokoze. Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi; era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.