Zabbuli 53:1-6 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi; Zabbuli ya Dawudi Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, nʼempisa zaabwe mbi nnyo; tewali nʼomu akola kirungi.

2Katonda atunuulira abaana bʼabantu ngʼasinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya.

3Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali nʼomu.

4Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ngʼabalya emmere; tebafaayo kusaba Katonda.

5Balitya okutya okutagambika; kubanga Katonda alisaasaanya amagumba gʼabalabe be. Baliswazibwa kubanga Katonda yabanyooma.

6Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni, Katonda nʼakomyawo emirembe eri abantu be, Yakobo asanyuka ne Isirayiri nʼajaguza.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>