Zabbuli 54:1-7 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi; eyʼebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.” Olwʼerinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, nʼamaanyi go amangi onzigyeko omusango.

2Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo byʼomu kamwa kange.

3Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.

4Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.

5Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olwʼobwesigwa bwo.

6Nnaakuleeteranga ssaddaaka eyʼekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.

7Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ngʼawangula abalabe bange.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>