3
4Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange; entiisa yʼokufa entuukiridde.
5Okutya nʼokukankana binnumbye; entiisa empitiridde.
6Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ngʼejjiba, nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
7“Nandiraze wala nnyo, ne mbeera eyo mu ddungu;
8Nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange ekyʼokuwummuliramu, eteri kibuyaga na mpewo ekunta nʼamaanyi.”
9Mukama tabulatabula ennimi zʼababi, ozikirize enkwe zaabwe; kubanga ndaba obukambwe nʼokulwanagana mu kibuga.
10Beetooloola bbugwe waakyo emisana nʼekiro, ne munda mu kyo mujjudde ettima nʼebikolwa ebibi.
11Obutemu nʼobussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo. Buli lwʼoyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
12Singa omulabe wange yʼabadde anvuma, nandikigumiikirizza; singa oyo atakkiriziganya nange yʼannumbaganye nʼanduulira, nandimwekwese.
13Naye ggwe munnange, bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14Gwe twabanga naye mu ssanyu ngʼabooluganda, nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
15Okufa kubatuukirire, bakke emagombe nga bakyali balamu; kubanga bajjudde okukola ebibi.
16Naye nze nkoowoola Mukama Katonda, nʼandokola.
17Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu, ndaajana nga bwe nsinda; nʼawulira eddoboozi lyange.
18Amponyezza mu lutalo nga siriiko kintuseeko newaakubadde ngʼabannwanyisizza babadde bangi.
19Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna, aliwulira nʼababonereza abo abatakyusa makubo gaabwe era abatatya Katonda.
20Agololera emikono gye ku mikwano gye; nʼamenya endagaano ye.
21Byʼayogera bigonvu okusinga omuzigo, so nga mu mutima gwe alowooza lutalo; ebigambo bye biweweera okusinga amafuta, so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
22Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23Naye ggwe, Ayi Katonda, olisuula abakola ebibi mu kinnya ekyʼokuzikirira; era abatemu nʼabalimba bonna tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri ekyʼobulamu bwabwe.