1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi. Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya; buli lunaku bannumba nʼamaanyi.
2Abalabe bange bannondoola, bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
3Buli lwe ntya, neesiga ggwe.
4Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye, ye Katonda gwe neesiga; siityenga. Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?
5Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula; ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
6Beekobaana ne bateesa, banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange; nga bannindirira banzite.
7Tobakkiriza kudduka ne bawona; mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
8Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika.
9Bwe nkukoowoola, abalabe bange nga badduka. Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10Katonda gwe ntendereza olwʼekisuubizo kye; Mukama gwe ntendereza olwʼekisuubizo kye;
11Katonda oyo gwe neesiga, siityenga. Abantu bayinza kunkolako ki?
12Ndituukiriza obweyamo bwange gyʼoli, Ayi Katonda; ndikuleetera ebirabo ebyʼokukwebaza.
13Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa. Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala; ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda mu musana nga ndi mulamu?