1Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, nʼalaga mu mpuku. Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma:
2Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo, Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3Alisinzira mu ggulu nʼandokola, nʼamponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe nʼokwagala kwe okutaggwaawo.
4Mbeera wakati mu mpologoma, nsula mu bisolo ebirya abaana bʼabantu. Amannyo gʼabalabe bange gali ngʼamafumu nʼobusaale. Ennimi zaabwe ziri ngʼebitala ebyogi.
5Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; nʼekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6Baatega ekitimba mu kkubo lyange, ne ntya nnyo; ne basimamu obunnya, ate bo bennyini ne babugwamu.
6
7Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga nʼennyimba.
8Zuukuka, ggwe omwoyo gwange! Zuukuka ggwe ennanga eyʼenkoba, naawe entongooli, ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga; ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; nʼobwesigwa bwo butuuka ku bire.
11Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu; nʼekitiibwa kyo kibune ensi yonna.