Zabbuli 58:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi: “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Ddala mwogera ebyʼamazima oba musirika busirisi? Abaana bʼabantu mubasalira emisango mu bwenkanya?

2Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe; era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.

3Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa, bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.

4Balina obusagwa ngʼobwʼomusota; bali ngʼenswera etawulira ezibikira amatu gaayo;

5Nʼetawulira na luyimba lwa mukugu agisendasenda okugikwata.

6Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe; owangulemu amannyo gʼempologoma zino, Ayi Mukama.

7Leka babule ngʼamazzi agakulukuta ne gagenda. Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.

8Babe ngʼekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo. Babe ngʼomwana azaaliddwa ngʼafudde, ataliraba ku njuba!

9Nga nʼentamu tennabuguma, alibayerawo nʼobusungu obungi nga kibuyaga owʼamaanyi ennyo.

10Omutuukirivu alisanyuka ngʼalabye bamuwalanidde eggwanga, olwo nʼebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogwʼabakola ebibi.

11Awo abantu bonna balyogera nti, “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa. Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>