1Ya Mukulu wʼAbayimbi. Ku ddoboozi “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte. Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange; onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2Omponye abakola ebitali bya butuukirivu, era ondokole mu batemu.
3Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita. Abasajja abʼamaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama, so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba. Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5Ayi Mukama Katonda owʼEggye, Katonda wa Isirayiri, golokoka obonereze amawanga gonna; abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6Bakomawo buli kiro, nga babolooga ngʼembwa, ne batambulatambula mu kibuga.
7Laba, bwe bavuma! Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ngʼebitala, nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera, era amawanga ago gonna oganyooma.
9Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu.
10Katonda wange anjagala anankulemberanga, ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe, abantu bange baleme kwerabira; mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange; nʼoluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12Amalala gaabwe nʼebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe, nʼebigambo byʼoku mimwa gyabwe leka byonna bibatege ngʼomutego. Kubanga bakolima era ne boogera ebyʼobulimba.
13Bamaleewo nʼekiruyi kyo, bamalirewo ddala; amawanga gonna galyoke gategeere nga Katonda wa Yakobo yʼafuga ensi yonna.
13
14Bakomawo nga buwungedde nga babolooga ngʼembwa, ne batambulatambula mu kibuga;
15Banoonya emmere buli wantu mu kibuga, ne bawowoggana bwe batakkuta.
16Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.