Zabbuli 6:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Eri Omukulu wa Bayimbi; nʼebivuga ebyʼenkoba ebyʼEkiseminisi. Ayi Mukama, tonnenya ngʼojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.

2 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.

3Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

4Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olwʼokwagala kwo okungi.

5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ngʼamaze okufa. Ani alikutendereza ngʼasinziira emagombe?

6Mpweddemu amaanyi olwʼokusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange nʼomutto ne gutoba.

7 Amaaso gange ganafuye olwʼokunyolwa, tegakyalaba bulungi olwʼabalabe bange.

8Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.

9Mukama awulidde okwegayirira kwange, nʼokusaba kwange akukkirizza.

10Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>