Zabbuli 60:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi: “Amalanga agʼEndagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana nʼAbaalamu abaava e Nakalayimu nʼabaava e Zoba; Yowaabu nʼakomawo nʼatta Abayedomu kakumi mu enkumi bbiri mu Kiwonvu ekyʼOmunnyo. Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi, otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gyʼoli.

2Ensi ogiyuuguumizza nʼogyasaayasa; tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.

3Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo; tuli nga bʼowadde omwenge omungi ne gututagaza.

4Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu, era akatiisa abalabe baabwe.

5Otulokole era otuyambe nʼomukono gwo ogwa ddyo, abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.

6Katonda ayogedde ngʼasinziira mu kifo kye ekitukuvu, nʼagamba nti, “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu, era nʼekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.

7Ensi ya Gireyaadi yange, nʼeya Manase nayo yange. Efulayimu ye nkufiira eyʼoku mutwe gwange; ate Yuda gwe muggo gwange ogwʼokufuga.

8Mowaabu kye kinaabirwamu kyange, ate Edomu gye nkasuka engatto yange: ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”

9Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?

10Si ggwe Ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala na magye gaffe?

11Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bwʼabantu temuli nsa.

12Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye yʼanaalinnyiriranga abalabe baffe wansi wʼebigere bye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>