1Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Dawudi Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda; wulira okusaba kwange.
2Nkukoowoola okuva ku nkomerero yʼensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3Kubanga gwʼoli kiddukiro kyange. Oli kigo ekyʼamaanyi mwe neekweka omulabe.
4Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange: ompadde omugabo awamu nʼabo abatya erinnya lyo.
6Oyongere ku nnaku zʼobulamu bwa kabaka; emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna. Okwagala kwo nʼobwesigwa bwo bimukuumenga.
8Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna, nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.