Zabbuli 62:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi, eri Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva.

2Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga nʼakatono.

3Mulituusa ddi nga mulumba omuntu, mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi ngʼekisenge ekyewunzise era ngʼolukomera oluyuuguuma?

4Bateesa okumuggya mu kifo kye ekinywevu, basanyukira ebyʼobulimba. Basaba omukisa nʼemimwa gyabwe so nga munda bakolima.

5Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.

6Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.

7Okulokolebwa kwange nʼekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka; ye lwe lwazi lwange olwʼamaanyi era kye kiddukiro kyange.

8Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu, mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe, kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

9Abaana bʼabantu mukka bukka, abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere; ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani, nʼomukka gubasinga okuzitowa.

10Temwesigamanga ku bujoozi wadde ku bintu ebibbe. Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11Katonda ayogedde ekintu kimu, kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti: Katonda, oli wʼamaanyi,

12era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala. Ddala olisasula buli muntu ngʼebikolwa bye bwe biri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>