1Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ngʼali mu nsi enkalu omutali mazzi.
2Nkulabye ngʼoli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go nʼekitiibwa kyo.
3Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.
4Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5Emmeeme yange enekkutanga ebyassava nʼobugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza nʼemimwa egyʼessanyu.
6Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ezʼekiro.
7Olwʼokuba ngʼoli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo.
8Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe.
10Balisaanawo nʼekitala; ne bafuuka emmere yʼebibe.
11Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa kʼabalimba kalisirisibwa.