Zabbuli 64:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, eryʼokwemulugunya kwange; okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.

2Onkweke mpone enkwe zʼabakola ebibi, onzigye mu kibinja kyʼaboonoonyi, abaleekaana

3abawagala ennimi zaabwe ngʼebitala, ne balasa ebigambo byabwe ngʼobusaale obutta.

4Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase; amangwago ne bamulasa nga tebatya.

5Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi ne bateesa okutega emitego mu kyama; ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”

6Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti, “Tukoze enteekateeka empitirivu.” Ddala ddala ebirowoozo byʼomuntu nʼomutima gwe byekusifu.

7Naye Katonda alibalasa nʼobusaale bwe; alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.

8Ebyo bye boogera biribaddira, ne bibazikiriza, ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.

9Olwo abantu bonna ne batya, ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda, ne bafumiitiriza ku ebyo byʼakoze.

10Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama, era yeekwekenga mu ye. Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>