Zabbuli 65:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gyʼoli.

2Ayi ggwe awulira okusaba kwʼabantu bo, abantu bonna banajjanga gyʼoli olwʼebibi byabwe.

3Ebibi byaffe bwe byatusukkirira, nʼotutangiririra.

4Alina omukisa oyo gwʼolonda nʼomusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi ebyʼomu nnyumba yo; ebyʼomu Yeekaalu yo entukuvu.

5Otwanukula nʼebikolwa byo ebyʼobutuukirivu ebyʼentiisa nʼotulokola, Ayi Katonda owʼobulokozi bwaffe; ggwe ssuubi lyʼabo abali mu nsi yonna nʼabo bonna abali ewala mu nnyanja zonna,

6ggwe, eyakola ensozi nʼobuyinza bwo, nʼozinyweza nʼamaanyi go,

7ggwe, asirisa okusiikuuka kwʼennyanja, nʼokkakkanya okwetabula kwʼamayengo gaayo, era ggwʼokkakkanya okwegugunga kwʼamawanga.

8Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo; ne bakuyimbira ennyimba ezʼessanyu okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

9Ensi ogirabirira nʼogifukirira nʼegimuka nnyo. Emigga gya Katonda gijjudde amazzi, okuwa abantu emmere eyʼempeke, kubanga bwʼotyo bwe wakiteekateeka.

10Otonnyesa enkuba mu nnimiro, nʼojjuza ebitaba byamu; nʼogonza ettaka, ebibala byʼomu nsi nʼobiwa omukisa.

11Ofundikira omwaka nʼamakungula amangi, ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.

12Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi, nʼobusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.

13Amalundiro gajjula ebisibo, nʼebiwonvu ne bijjula emmere eyʼempeke. Ensi yonna eyimba mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼejjudde essanyu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>