1Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi. Yimbira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka, ggwe ensi yonna.
2Muyimbe ekitiibwa kyʼerinnya lye. Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa! Olwʼamaanyi go amangi abalabe bo bakujeemulukukira.
4Abʼomu nsi yonna bakuvuunamira, bakutendereza, bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5Mujje mulabe Katonda kyʼakoze; mulabe ebyʼentiisa byʼakoledde abaana bʼabantu!
6Ennyanja yagifuula olukalu. Abantu baasomoka omugga nʼebigere nga temuli mazzi, kyetuva tujaguza.
7Afuga nʼamaanyi ge emirembe gyonna; amaaso ge agasimba ku mawanga, abʼomutima omujeemu baleme okumujeemera.
7
8Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga; eddoboozi eryʼokumutendereza liwulirwe wonna.
9Oyo yʼatukuumye ne tuba balamu, nʼataganya bigere byaffe kuseerera.
10Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza, nʼotulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11Watuteeka mu kkomera, nʼotutikka emigugu.
12Waleka abantu ne batulinnyirira; ne tuyita mu muliro ne mu mazzi, nʼotutuusa mu kifo ekyʼokwesiima.
13Nnaayambukanga mu yeekaalu yo nʼebiweebwayo ebyokebwa, ntuukirize obweyamo bwange gyʼoli,
14nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza; akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15Nnaawaayo gyʼoli ssaddaaka ezʼensolo ensava, mpeeyo ne ssaddaaka eyʼendiga ennume; mpeeyo ente ennume nʼembuzi.
16Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda, mbategeeze ebyo byʼankoledde.
17Namukaabirira nʼakamwa kange, ne mutendereza nʼolulimi lwange.
18Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange, Mukama teyandimpulirizza;
19Ddala ddala Katonda yampuliriza era nʼawulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20Katonda atenderezebwenga, atagobye kusaba kwange, wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!