Zabbuli 67:1-7 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wʼAbayimbi. Ebivuga ebyʼenkoba. Oluyimba Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go.

2Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, nʼobulokozi bwo mu mawanga gonna.

3Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.

4Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, nʼoluŋŋamya amawanga agʼensi.

5Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.

6Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.

7Katonda anaatuwanga omukisa; nʼenkomerero zʼensi zinaamutyanga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>