1Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa DawudiKatonda agolokoke, abalabe be basaasaane,nʼabo abamukyawa bamudduke.
2Ngʼempewo bwʼefuumuula omukka,naawe bafuumuule bwʼotyo;envumbo nga bwʼesaanuuka mu muliro,nʼabakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3Naye abatuukirivu basanyukebajagulize mu maaso ga Katonda,nga bajjudde essanyu.
3
4Muyimbire Katonda,muyimbe nga mutendereza erinnya lye;mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5Ye Kitaawe wʼabataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6Katonda afunira abatalina we babeera ekifo ekyʼokubeeramu,aggya abasibe mu kkomera nʼabagaggawaza;naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.
6
7Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,nʼobayisa mu ddungu,
8ensi yakankana,eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;nʼolusozi Sinaayi ne lukankanaawali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;ensi yʼobusika bwo nʼogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10abantu bo ne babeera omwo; era olwʼekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11Mukama yalangirira;ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12“Bakabaka badduse nʼamaggye gaabwe;abantu ne bagabana omunyago.