Zabbuli 69:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi eryʼAmalanga. Zabbuli ya Dawudi Ondokole, Ayi Katonda, kubanga amazzi gandi mu bulago.

2Ntubira mu bitosi nga sirina we nnywereza kigere. Ntuuse ebuziba nʼamataba gansaanikira.

3Ndajanye ne nkoowa, nʼemimiro ginkaze. Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye olwʼokutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.

4Abo abankyayira obwereere bangi okusinga enviiri ezʼoku mutwe gwange; abalabe bange bangi abannoonya okunzita awatali nsonga; ne mpalirizibwa mbaddizeewo ekyo kye sibbanga.

5Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, nʼokusobya kwange tekukukwekeddwa.

6Sisaana kuswaza abo abakwesiga, Ayi Mukama, Mukama owʼEggye. Abo abakunoonya baleme kuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isirayiri.

7Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo, nʼamaaso gange ne gajjula ensonyi.

8Nfuuse nga omugwira eri baganda bange, munnaggwanga eri abaana ba mmange.

9Nzijudde obuggya olwʼennyumba yo, nʼabo abakuvuma bavuma nze.

10Bwe nkaaba ne nsiiba, ekyo nakyo ne kinvumisa.

11Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka ekyʼokuzanyisa kyabwe.

12Abo abatuula ku mulyango gwʼekibuga banduulira, era nfuuse luyimba lwʼabatamiivu.

13Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe, mu kiseera ekyʼekisa kyo. Olwʼokwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda, ondokole nga bwe wasuubiza.

14Onnyinyulule mu ttosi nneme okutubira; omponye abankyawa, onzigye mu mazzi amangi;

15amataba galeme okumbuutikira nʼobuziba okunsanyaawo, nʼennyanja ereme okummira.

16Onnyanukule, Ayi Mukama olwʼobulungi bwʼokwagala kwo; onkyukire olwʼokusaasira kwo okungi.

17Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu, kubanga ndi mu kabi.

18Onsemberere onziruukirire, onnunule mu balabe bange.

19Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa, era nʼabalabe bange bonna obamanyi.

20Okusekererwa kunkutudde omutima era kummazeemu amaanyi. Nanoonya okusaasirwa ne kumbula, nʼowʼokumpooyawooya naye nga simulaba.

21Mu kifo kyʼemmere bampa mususa, era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

21

22Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika, nʼembaga zaabwe ezʼebiweebwayo zibafuukire omutego.

23Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba, nʼemigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.

24Bayiweeko ekiruyi kyo, obamalewo nʼobusungu obwʼamaanyi go obungi.

25Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa, waleme kubaawo nʼomu abeera mu weema zaabwe.

26Kubanga bayigganya oyo gwʼofumise, ne boogera ku bulumi bwʼoyo gwʼolumizza.

27Bavunaane omusango kina gumu, era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.

28Bawanduukululwe mu kitabo kyʼobulamu; baleme kulabika ku lukalala lwʼabatuukirivu.

28

29Ndi mu bulumi era mu nnaku; obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.

30Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba; nnaamugulumizanga nʼokwebaza.

31Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume, oba okumuwa seddume nʼamayembe gaayo, nʼebigere byayo.

32Abaavu banaakirabanga ne basanyuka; mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.

33Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga, era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34Kale eggulu nʼensi bimutenderezenga awamu nʼennyanja zonna nʼebyo ebizirimu.

35Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, nʼebibuga bya Yuda nʼabizimba buggya, abantu ne babibeerangamu nga byabwe.

36Abaana bʼabaweereza be balikisikira; nʼabo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>