Zabbuli 7:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Sigayooni ya Dawudi gye yayimbira Mukama ngʼefa ku Kuusi Omubenyamini Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: ngobaako bonna abangigganya era omponye,

2 si kulwa nga bantagulataagula ngʼempologoma ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

3 Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino, era ngʼengalo zange ziriko omusango,

4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi, oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:

5Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate, bankube wansi banninnyirire, banzitire mu nfuufu.

6Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe. Golokoka, Ayi Katonda wange, onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.

7Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola; obafuge ngʼoli waggulu ennyo.

8Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo, asalira amawanga gonna emisango, osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ngʼobutuukirivu bwange bwe buli, era nʼamazima agali mu nze bwe gali.

9 Ayi Katonda omutukuvu, akebera emitima nʼemmeeme; okomye ebikolwa byʼabakola ebibi: era onyweze abatuukirivu.

10Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange; alokola abo abalina omutima omulongoofu.

11Katonda mulamuzi wa mazima; era alaga ekiruyi kye buli lunaku.

12 Mukama awagala ekitala kye nʼaleega omutego gwe ogwʼobusaale.

13Era ategese ebyokulwanyisa ebissi; era akozesa obusaale obwʼomuliro.

14 Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana, nʼazaala obulimba.

15 Asima ekinnya, nʼakiwanvuya nnyo; ate nʼakigwamu ye kye yasimye.

16 Emitawaana gye gimwebunguludde; nʼobukambwe bwe bumuddire.

17Nneebazanga Mukama olwʼobutuukirivu bwe; nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>