1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, eyʼokujjukiza Ayi Katonda oyanguwa okundokole. Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde.
3Abagamba nti, “Kasonso,” badduke nga bajjudde ensonyi.
4Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”
5Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa!