1Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka, tondeka kuswazibwa.
2Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye; ontegere okutu ondokole.
3Onfuukire olwazi obuddukiro bwange, ekifo ekyʼamaanyi; ondokole kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4Ayi Katonda wange omponye mu mukono gwʼababi, omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
5Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange; ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
6Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa; ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange. Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
7Eri abangi nafuuka; naye ggwe kiddukiro kyange ekyʼamaanyi.
8Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
9Tonsuula mu kiseera kyange ekyʼobukadde. Tondekerera ngʼamaanyi gampweddemu.
10Kubanga abalabe bange banjogerako; abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11Bagamba nti, “Katonda amulese, ka tumugobe tumukwate, kubanga taliiko anaamuwonya.”
12Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange, yanguwa ojje ombeere.
13Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi, abanoonya okunnumya baswale era banyoomebwe.
14Naye nze nnaabanga nʼessuubi ennaku zonna. Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
15Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo ebyʼobutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo, wadde siyinza kubupima.
16Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda, era ne ntegeezanga nti Ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange; nʼokutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo ebyʼekitalo.
18Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze nʼenvi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, nʼokumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
19Nʼobutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu. Ggwʼokoze ebikulu, Ayi Katonda, ani akwenkana?
20Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo, ggwʼolinzizaamu obulamu, nʼompa amaanyi amaggya, nʼonnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi wʼensi.
21Olinnyongerako ekitiibwa nʼoddamu okunsanyusa.
22Nnaakutenderezanga ne nnanga eyʼenkoba olwʼobwesigwa bwo, Ayi Katonda wange; nnaakutenderezanga nʼentongooli, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23Nnaayimusanga eddoboozi lyange olwʼessanyu nga nkutendereza, nze gwʼonunudde!
24Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo ebyʼobutuukirivu obudde okuziba, kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.