Zabbuli 72:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli eyawandiikirwa Sulemaani Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya, ne mutabani we omuwe obutuukirivu,

2alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu, nʼabaavu abalamulenga mu mazima.

3Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana nʼobusozi bubaleetere obutuukirivu.

4Anaalwaniriranga abaavu, nʼatereeza abaana bʼabo abeetaaga, nʼomujoozi nʼamusaanyaawo.

5Abantu bakutyenga ngʼenjuba nʼomwezi gye bikoma okwaka mu mirembe gyonna.

6Abeere ngʼenkuba bwʼetonnya ku muddo ogusaliddwa, afaanane ngʼoluwandaggirize olufukirira ensi.

7Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe, nʼokufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

8Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[12] nʼokuva ku mugga Fulaati[13] okutuuka ku nkomerero zʼensi!

9Ebika ebyʼomu malungu bimugonderenga, nʼabalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.

10Bakabaka bʼe Talusiisi[14] nʼabʼoku bizinga ebyʼewala bamuwenga omusolo; bakabaka bʼe Syeba nʼabʼe Seeba[15] bamutonerenga ebirabo.

11Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge; amawanga gonna ganaamuweerezanga,

12Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bwʼanaamukoowoolanga, nʼomwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.

13Anaasaasiranga omunafu nʼomwavu; nʼawonya obulamu bwa kateeyamba.

14Anaabanunulanga mu mikono gyʼomujoozi nʼabawonya obukambwe bwe; kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gyʼali.

15Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku.

16Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi, ebikke nʼentikko zʼensozi. Ebibala byayo byale ngʼebyʼe Lebanooni; nʼabantu baale mu bibuga ngʼomuddo ogwʼoku ttale.

17Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, nʼokwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ngʼenjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lwʼerinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri, oyo yekka akola ebyewuunyisa.

19Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe nʼemirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.

19Amiina era Amiina!

20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>