1Zabbuli ya Asafu Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri nʼeri abo abalina omutima omulongoofu.
2Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala era nʼebigere byange okuseerera.
3Kubanga nakwatirwa abʼamalala obuggya; bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4Kubanga tebalina kibaluma; emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5Tebeeraliikirira kabi konna ngʼabalala. So tebalina kibabonyaabonya.
6Amalala kyegavudde gabafuukira ngʼomukuufu ogwʼomu bulago, nʼobukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7Bagezze nʼamaaso gaabwe ne gazimbagatana; balina bingi okusinga bye beetaaga.
8Baduula era emboozi zaabwe zijjudde ebyʼokujooga. Batiisatiisa abalala nʼokubeeragirako.
9Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu; nʼennimi zaabwe zoogera ebyʼokwewaanawaana buli wantu.
10Abantu ba Katonda kyebava babakyukira ne banywa amazzi mangi.
11Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya? Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo; bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona, nʼengalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14Naye mbonaabona obudde okuziba, era buli nkya mbonerezebwa.
15Singa ŋŋamba nti Njogere bwe nti, nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogwʼabaana bo.
16Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo; nakisanga nga kizibu nnyo,
17okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda, ne ntegeera enkomerero yʼababi.
18Ddala obatadde mu bifo ebiseerera; obasudde nʼobafaafaaganya.
19Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe! Entiisa nʼebamalirawo ddala!
20Bali ngʼomuntu azuukuse nʼategeera nti Yaloose buloosi; era naawe bwʼotyo, Ayi Mukama, bwʼoligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
20
21Omutima gwange bwe gwanyiikaala, nʼomwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22nʼaggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi, ne mba ngʼensolo obusolo mu maaso go.
23Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo; gwʼonkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa.
25Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe? Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26Omubiri gwange nʼomutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi gʼomutima gwange, era ye wange ennaku zonna.
27Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira; kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange. Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange; ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo ebyʼekyewuunyo.