Zabbuli 74:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Asafu Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna? Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga zʼomu ddundiro lyo?

2Ojjukire abantu bo be wagula edda; ekika kye wanunula okuba ababo. Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.

3Tambulatambulako mu bifo byʼekibuga olabe bwe byonooneddwa! Olabe omulabe nga bwʼazikirizza ennyumba yo.

4Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga; ne bagenda nga bakiramba nʼebendera zaabwe.

5Beeyisa ngʼabantu ababagalidde embazzi abatema emiti mu kibira.

6Batemyetemye nʼembazzi ebintu ebyole, era ne babissessebbula nʼobubazzi.

7Bookezza awatukuvu wo; ne bafaafaaganya ekifo kyo ekyʼErinnya lyo.

8Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!” Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

9Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali nʼomu. So tewali nʼomu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.

10Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ngʼakuduulira? Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.

11Lwaki totuyambye nʼomukono gwo ogwa ddyo? Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gwʼoleeta obulokozi mu nsi.

13Ggwe wayawula mu mazzi gʼennyanja; omulabe nʼomuzikiririza mu mazzi.

14Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene; nʼoguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde ebyʼomu ddungu.

15Ggwe wazibukula ensulo nʼemyala; ate nʼokaza nʼemigga egyakulukutanga bulijjo.

16Obudde bwʼemisana bubwo, nʼekiro kikyo; ggwe wakola omwezi nʼenjuba.

17Ggwe wateekawo ensalo zʼensi; ggwe wakola ebiro ebyʼekyeya nʼebyʼobutiti.

18Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kwʼomulabe, nʼabantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.

19Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe; so teweerabiriranga ddala bulamu bwʼabantu bo ababonyaabonyezebwa.

20Ojjukire endagaano yo; kubanga ensi ejjudde ekizikiza nʼabantu abakambwe.

21Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa; era leka abaavu nʼabeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.

22Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango. Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.

23Tonyooma luyoogaano lwʼabalabe bo, nʼokuleekaana okwa buli kiseera.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>