Zabbuli 75:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi ku ddoboozi “Tozikiriza.” Luyimba lwa Asafu Tukwebaza, Ayi Katonda. Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi. Abantu boogera ku bikolwa byo ebyʼekyewuunyo.

2Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera era nsala omusango gwa bwenkanya.

3Kyokka newaakubadde ngʼensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira, naye nze nywezezza empagi zaayo.”

4Nalabula abʼamalala bagaleke, nʼababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ngʼeryʼembogo.

5Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu nʼokwogera nga muduula.

6Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu era nʼobuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bwʼensi,

7wabula biva eri Katonda; era ye yʼagulumiza omu ate nʼatoowaza omulala.

8Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe ekyʼobusungu bwe ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu; akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

9Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama; nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.

10Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi, naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>