1Ya Mukulu wa Bayimbi; nʼebivuga ebyʼenkoba. Zabbuli ya Asafu Katonda amanyiddwa mu Yuda; erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2Eweema ye eri mu Yerusaalemi; era abeera mu Sayuuni.
3Eyo gyʼasinziira nʼamenyaamenya obusaale bwʼomulabe obujja bwesooza; nʼengabo nʼebitala nʼebyokulwanyisa byonna ebyʼolutalo.
4Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5Abʼamaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo nʼomu asobola okuyimusa omukono gwe.
6Bwʼobaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu nʼebigaali ne batagolokoka.
7Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga. Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ngʼosunguwadde?
8Osalira abantu emisango ngʼosinziira mu ggulu, ensi nʼetya nʼekankana nʼesirika olwʼobusungu bwo,
9bwʼogolokoka okusala omusango, okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10Bwʼosunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, nʼabo bʼotasunguwalidde ne beegendereza.
11Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga; bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo, kubanga asaanidde okutiibwa.
12Mukama akkakkanya abalangira, ne bakabaka bʼensi bamutya.