1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama, ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda, ne nfumiitiriza emmeeme yange nʼezirika.
4Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5Ne ndowooza ku biseera ebyʼedda, ne nzijukira emyaka egyayita.
6Najjukiranga ennyimba zange ekiro, ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti,
7Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna naataddayo kutulaga kisa kye?
8Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala? Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe nʼemirembe?
9Katonda yeerabidde ekisa kye? Asunguwalidde ddala ne yeggyako nʼokusaasira kwe?
9
10Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi ebyʼemyaka emingi ebyʼomukono ogwa ddyo ogwʼoyo Ali Waggulu Ennyo.”
11Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama, weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo ebyʼedda.
12Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna ebyʼamaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14Ggwe Katonda akola ebyʼamagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15Wanunula abantu bo nʼomukono gwo, abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; amazzi bwe gaakulaba ne gatya, nʼobuziba ne bukankanira ddala.
17Ebire byayiwa amazzi ne bivaamu nʼokubwatuka, era nʼobusaale bwo ne bubuna.
18Eddoboozi lyo eryʼokubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta okumyansa kwo ne kumulisa ensi. Ensi nʼekankana nʼenyeenyezebwa.
19Ekkubo lyo lyali mu nnyanja; wayita mu mazzi amangi, naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20Wakulembera abantu bo ngʼekisibo, nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.